Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abavubuka 2 ku bigambibwa nti balina kyebamanyi ku bunyazi bw’essimu ezibbibwa ku bannakampala, era nti babadde bazikyusa serial number bannyinizo nebataddamu kumanya bizikwatako.
Omu ku bavubuka bano yasoose kwekwata ku katambi nga yewaana era ng’alina essimu zebaabadde bamuleetedde azikyuse.
Omwogezi wa police mu Kampala ne mirirano Patrick Onyango agambye nti omuvubuka ono ne munne bakwatiddwa ekitongole kya bambega ba police ekya CID, era ng’akuumibwa mu kaddukulu ka police ku police ya CPS mu Kampala.#