Police enokoddeyo bannabyabufuzi nti bebakyalemezza bodaboda mu kibuga Kampala zegamba nti tezigoberera mateeka, ekiviiriddeko n’obubenje okweyongera.
Alipoota efulumiziddwa ekitongole kya Blooberg Philanthropies Intiative for Global Road Safety, eraze nti abantu abafa obubenje obuva ku bodaboda mu Kampala buweza ebitundu 98% .
Kino kiva kukuvugisa ekimama, obutamanya bubonero bw’okunguudo , so ng’abalala bavuga batamidde .
Abasajja beebasinga okufiira mu bubenje buno n’ebitundu 80%, bw’ogerageranya n’abakyala.
Alipoota eno era eraga nti Kulw’omukaaga , Sunday ne Monday z’ennaku abantu kwebaasinga okufiira mu bubenje.
Mu mwaka gwa 2019 abantu ebitundu 52% beebafa ku nnaku ezzo, so nga abantu ebitundu 49% bebaafa ku nnaku zezimu mu mwaka 2020.
Bino byonna birambikiddwa mu alipoota ye kitongole kino ekwata ku nkozesa y’enguudo mu kibuga Kampala ey’omwaka 2019 ne 2020.
Lawrence Niwabiine, akulira police y’ebidduka mu kiseera kino asabye bannabyabufuzi bonna bakkaanye n’abasirikale ba traffic, bodaboda zonna bazigobe mu kibuga bongera n’okukwasisa amateeka ku bantu bonna abavungira ku nguudo.
Alipoota eno etongolezeddwa ku kitebe kya KCCA ku city hall mu Kampala, era wabaddewo okukubagana empawa ku kigenda okukolebwa bodaboda eziyitiridde mu Kibuga n’okukola obubenje obutasalako.
Ssekkulu w’ekibuga Dorothy Kisaka agambye nti bakyateekateeka amateeka agagenda okulambika entambula ya bodaboda mu kibuga, okutereeza omulimu gwabwe n’okukendeeza obubenje buno .
Minister omubeezi avunanyizibwa kunsonga z’ekibuga Kyofatogabye Kabuye agambye nti alipoota eno ebawadde ekyokukola, era kwebagenda okusinziira okugoba bodaboda zonna mu kibuga
Ye Lord mayor Ssalongo Erias Lukwago agambye nti abakulembezze b’ekibuga balina okusooka okutuula okutekerateekera omulimu gw’okuvuga bodaboda zonna mu kibuga.
Stellah Namatovu omukwanaganya w’ekitongole kya Bloomberg Philanthropies Initiatives for Global Road Safety [BIGRS] agambye nti obubenje obwasinga mu kibuga bwagwa ku saawa ya Queen, Nsambya , ku nkulungo y’e Bwaise, ne Naalya ku Northern by pass.
Enguudo endala ezisinga okugwako obubenje kuliko Masaka Road , Kibuye, Jinja Road , Nakawa Traffic lights ne Najjanankumbi, nga mu bitundu ebyo ekitongole kya KCCA kirina okubaako kyekikolawo okukendeeze obubenje obugwa mu bitundu ebyo.