Police efulumizza amannya gabatemu abagambibwa okutemula omutaka wákasolya k’ekika ky’endiga era nnyini kampuni ya Transa Electricals Company Limited,Lwomwa Daniel Bbosa eyakubiddwa amassasi agamutiddewo mu bitundu bye Lungujja.
Abagabibwa okukola obutemu buno ye Enock Sserunkuuma mutuuze we Lungujja eyafiriddewo oluvanyuma lw’a bantu okugoba boda boda kwebabadde baddukira nga bamazze okukola obutemu nebabakuba, ne Noah Luggya eyawonyewo nga kati afuna bujjanjabi mu ddwaliro ekkulu e Mulago, gyagenda okugyibwa abeeko byayongera okutaanya.
Police egamba nti waliwo n’omutemu owokusatu akyalira ku nsiko agambibwa nti naye yabadde mulukwe lw’okusanyaawo obulamu bwomutaak Daniel Bbosa.
Omutaka Daniel Bbosa yattiddwa kumpi n’amakage agasanibwa e Lungujja mu division ye Lubaga mu Kampala.
Abazigu abaabadde batambulira ku bodaboda baamusasiridde amasasi mu mmotoka mweyabadde atambulira namba UAH 637X negamuttirawo , ate mukyalawo Glades Bbosa n’omukozi wawaka Peace Nambaale baasimattuse.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga asinzidde mu police e Nagguru mu lukungaana lwabannamawulire nategeza nti byebaakazuulawo mwemuli okuba nga abatemu bano bakozeseza soolotepu okukyusa ennamba ya pikipiki kwebabadde batambulira, okuva mu namba yayo yenyini UFX 854F nebasaako encupule namba UEX 754E.
Kinajjukirwa nti obutemu obw’engeri eno buzze bukolebwa ku bantu bangi, omuli ba masheik, abalamuzi,bakungu ba government nabalala, wabula police tevaangayo nalipoota namutayika ematiza ku ttemu eryénjawulo erizze likolebwa emyaka egiyise.