Alipoota ya police ekwata ku muliro ogwokezza akatale k’e Kajjansi, eraze nti omuliro guno guvudde ku ssigiri eyalekeddwa mu kimu ku bibanda ebisangibwa mu katale kano.
Alipoota eraze nti emidaala 17 nga gino gikola ebitundu 40% gisanyeewo, ebitundu 60% bitaasiddwa.
Alipoota yeemu eraze nti okukolera awamu mu basuubuzi ne police ezikiriza omuliro, kiyambyeko mu kutaakiriza emmaali yonna obutasaanawo.
Ebimu ku bisanyeewo mubaddemu emidaala gy’abasuubuzi, ensimbi enkalu, emmere omuli amatooke, ebirabo by’emmere ne Saloon.
Akulira police ezikiriza omuliro mu ggwanga Joseph Mugisa, ategeezezza cbs nti agambye nti tewali muntu afiiridde mu muliro guno, kyokka neyeebaza abasuubuzi olw’enkolagana ennungi n’ekitongole ekizikiriza omuliro mu police.
Bisakiddwa: Kato Denis