Abantu 2 bafudde mu kabenje akagudde e Kamwokya ku ssaawa nga musanvu ez’ekiro.
Emmotoka zitomereganye ku nkulungo eyitibwa eya Kayunga mu kitundu kye Kamwokya nga ku Acacia Avenue mu Kampala.
Kigambibwa nti omugoba w’emmotoka kika kya Mercedes-Benz NO. UBL 189R, Kimera Faziru omutuuze we Buwaate abadde avuga endiima, ayingiridde ebyuma ebiri ku nkulungo naabitomera, gy’asanze n’abaana b’okunguudo 3 ababadde bebase naabalinnya.
Mercedes – Benz eyiseemu buyisi mu nkulungo neeyingirira emmotoka endala kika kya Toyota Mark X UBF 788K, ebadde eva ku luguudo lw’e Mulago neegikuba neyefuula.
Amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye abantu 2 abakooneddwa emmotoka zino bafiiridde mu ddwaliro e Mulago gyebabadde baddusiddwa.
Emmotoka zombi ezifunye akabenje zitwaliddwa ku police ye Kira, ate abagoba baazo bali mu ddwaliro bapooca, nga police bweyongera okunoonyereza ekivuddeko akabenje.#