Police e Mukono ebakanye n’eddimu ery’okunoonya omuwala Desire Kisaakye Nsimenta(25) agambibwa okukkakana ku muganzi we Vincent Sseguya n’amusalako obusajja okujula okubukutulako.
Bino bibadde ku kyalo Kirangira B ekisangibwa mu Ggulu ward mu Mukono municipality.
Sseguya asangiddwa mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital gy’afunira obujjanjabi, anyonyodde nti yabadde y’akava ku kyeyo mu gwanga lya Quatar gy’amaze emyaka etaano.
Agamba nti omuwala yali tayagalira ddala akomewo olw’ensonga z’atategeera, era nti yakola byonna okumulemesa okudda e Uganda.
Sseguya alumirizza Nsimenta nga bweyajaajaamya n’ensimbi zeyamuweerezanga ez’okuddaabiriza ennyumba z’abadde azimba.
Agambye nti negyebuvuddeko omuwala yoomu yamuteera obutwa bw’emmese mu chai nga kw’agasse n’okumulimbalimba olubuto.
Ssegula asangiddwa mu bulumi agambye nti nti ku ssaawa nga kumi n’emu ez’okumakya, Nsimenta amugwiikirizza ng’ali mu tulo otungi, n’amusala obusajja n’akambe akabadde akoogi.
Mu kulwanagana omuwala era amusaze akambe ku mukono n’amulekera ebiwundu eby’amaanyi.
Kephas Mubiru ng’ono ye ssentebe w’ekitundu kino agambye nti bakwataganye ne police okuyigga omukazi gyeyekukumye, nti kubanga n’essimu y’omusajja agenze nayo n’ekigendererwa ekirowoozebwa eky’okubuzaawo obujulizi.
Amyuka akulira abakyala ku lukiiko lw’ekyalo Barbra Namusisi asabye abafumbo naddala abakyala okwewala okukola okusalawo okw’obusungu obungi.
Bisakiddwa: Majorine Kiita Mpanga