Police ekutte omukozi agambibwa okuba ng’aludde nga yeyisa ng’omuwala, so nga kigambibwa nti mulenzi.
Police emukwatidde Mityana agende yennyonnyoleko ekikula kye ekituufu.
Omukwate amannya ge amatuufu tegannategerekeka kyokka ng’ abadde yeyita Shebah, era abadde muweereza mu kirabo ky’emmere ekimu ku Banda stage mu kibuga Mityana.
Police mu kukwata omuntu ono abatuuze bagiwerekerezza ebisongovu, nga bagamba omuntu gwebamalirako obudde abadde talina mutawaana ku bantu.
Wadde nga ekituufu ekyaviiriddeko abakuuma ddembe okwekengera omuwala ono Shebah nga bw’abadde yeyita tekinnategerekeka, kyokka kigambibwa nti ku lunaku lwa Saturday mu kivvulu ky’omuyimbi Hajji Haruna Mubiru ekyali ku Eden city gardens, Shebah ono aliko omusajja eyamukwana n’amuwa n’ensimbi ze, wabula kyeyamuzuulako yandiba nga yeyabagulizza ku police.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi