Police mu District ye Kassanda ekutte omukulu we ssomero lya Brain Star Secondary School ku bigambibwa nti yakabasanya omwana omuwala ku ssomero lino n’amufunyisa n’olubuto.
Omukwate ategerekese nga ye Jonathan Ssekayombya nga mutuuze ku kyalo Wakayiba ekisangibwa mu Ggombolola ye Kalwana mu District ye Kassanda era n’essomero ly’akulira lisangibwa mu kitundu kye kimu.
Omwana omuwala agambibwa okusobezebwako wa myaka 16 nga bino byonna webyatuukirawo yali asoma mu S.1 ku ssomero lino omwaka oguwedde 2023.
Okusinziira ku Poli bwekyategerekeka nti omwana ono asobye ajjibwa mu ssomero era abantu abe kisa bebaatemezzaako Poliisi eyasitukiddemu okunoonyereza era okunoonyereza kuno kwekubatuusizza ku musajja mukulu ono.
Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala afande Rachel Kawala agambye nti waliwo abantu abatemezza ku police, oluvannyuma lw’okulaba omwana ono ng’asobye era nga agiddwa ne mu ssomero.
Police mu kunoonyereza kweyabakanye nakwo kwekwagituusizza ku mukulu w’essomero era n’akwatibwa.#