Sserwadda Moses abadde omutuuze we Kagologolo mu Bukomansibi yattiddwa ku kyalo Kyanika mu gombolola ye Kitanda.
Kigambibwa nti Sserwadda aludde ng’agenda mu misiri gy’emmwanyi z’abantu abalala naazibba.
Kigambibwa nti ku mulundi guno abapakasi mu musiri gwa Sagala Fred mwebaamukwatidde, nti yaguyingidde bamulaba naataandika okuwulula emmwanyi kwekumugwako ekiyiifuyiifu nebamukuba emiggo egyamuviiriddeko okufa.
Ssentebe wa Kagologolo Town council Ssekigudde Alex agambye nti bazze bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze nti Sserwadda Moses abadde ababbira emmwanyi zabwe ku misiri, wabula tasobodde kwogera baabadde abba nabo.
Police e Bukomansimbi ekutte abapakasi abateeberezebwa okumutta.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior