Bannakisinde kya Peoples’ Front For Freedom PFF batabukidde ebibiina by’obufuzi ku ludda oluvuganya government ya NRM, abatandise okubasojja nti oluvannyuma lw’okuteekebwa kw’ekibiina kyabwe mu kyapa ky’eggwanga, nti kigenderera kutabula ludda luvuganya.
Mu lukuηaana lwa bannamawulire olutudde ku Katonga Road mu kibuga Kampala, omu kubakulembeddemu enteekateeka y’okuwandiisa PFF ng’ekibiina ekijjuvu, Wafula Ogutu, atabukidde ababoogerera amafuukuule nti bagezaako kukonzibya mwana eyakazaalibwa (PFF), nti naye sibakubaggya ku mulamwa.
Oguttu agambye nti kikwasa ennaku nga ate abavuganya government bennyini bebabogerera bino.
Ssemujju Nganda omwogezi wa PFF ow’ekiseera alabudde abakola bino nti kati amaanyi bandibadde bagateeka ku bbago erigenderedemu okukola enongosereza mu kooti y’amagye.
Ssemujju ajjukiza ababaka nti etteeka nga bwerikomezebwaawo mu parliamrnt bandibadde balowooza ku banna Uganda, era naasaba ne parliament wakiri ekkirize banna Uganda abamu bagende ku parliament bawulirize ababaka babwe nga bateesa ku tteeka lino.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif