Government ng’eyita mu Ministry y’ebyentambula n’enguudo emalirizza enteekateeka y’okukyusa etteeka erirungamya ebyentambula mu ggwanga erya Trafic and Road Safety Act 2020, okusaamu obuwaayiro obuteekawo kooti ezenjawulo omugenda okuvunaanibwa abagoba be bidduka bonna abaviirako obubenje olw’obulagajjavu.
Mu tteeka lino mwakusibwamu permit empya ezigenda okuwebwa ba dereeva bonna abavuga bus ne taxin’ebidduka ebirala eby’olukale.
Mu nteekateeka eno Minister we byenguudo mu ggwanga Gen Katumba Wamala saako abakungu mu Ministry ye byentambula basisinkanye omuwaabi wa government Jane Francis Abodo saako Principal Judge okwekeneenya engeri kooti zino gyezinakolangamu ne bifo wezinatuula.
Mu buwaayiro obulala obugenda okuteekebwa mu tteeka lino, government yakuddamu okutendeka abagoba b’ebidduka abavuga emmotoka ezólukale bonna mu ggwanga, nga bano bakuweebwa Permit empya ezimanyidwa nga Professional Driving Permit era zakutandika okukola okuva nga 1July Omwaka guno 2023.
Bino byanjuddwa Kashabe Winstone Commissioner mu Ministry y’e byenguudo avunanyizibwa ku bidduka mu ggwanga mu lukungaana lw’ebitongole ebyókwerinda kwebitongolezza kampuni egenda okuddamu okubangula abagoba b’ebidduka bonna.
Kashabe era ategezezza nti abagoba be bidduka abavuga emmotoka ezólukale sibakuddamu kukkirizibwa ku nguudo nga tebalina permit empya eza professional driving permits.
Bisakiddwa: Ssebuliba William