Omusumba w’ekkanisa y’abalokole eya Epikaizo Ministries International esangibwa e Bugoloobi asindikiddwa mu nkomyo e Luzira, oluvannyuma lw’okusomerwa omusango gw’obulyisa maanyi.
Omusumba Joseph Collins Twahirwa amanyiddwa nga Daddy Collins owemyaka 28, kigambibwa ntu yakkakana ku munnansi w’eggwanga lya Latvia owemyaka 36 n’amutuusako ogwobulyisa maanyi bweyali azze kuno okumusisinkana.
Okusinziira ku bujulizi omukyala ono bweyawa police, bulaga nti yasisinkana omusumba ono ku mukutu omugatta bantu ogwa Tiktok era namuyita okujja wano mu Uganda okumulabako.
Nti kyokka omukyala bweyatuuka mu makaage e Munyonyo kwekumutuusaako ogw’obulyisa maanyi saako n’okumunyagako ensimbi nga bino byonna byaliwo nga 12th December omwaka oguwedde 2022.
Omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa Ritah Kidasa ono olumusomedde omusango tamukkiriza kubaako kyanyega, nti kubanga guno musango gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu, era ono amusindise mu nkomyo e Luzira okutuusa omwezi ogujja ng’oludda oluwaabi bwerugenda mu maaso n’okunoonyereza.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam