Pastor Aloysius Bugingo alangiridde nti enteekateeka y’okuzimba ekanisa ye gy’agenda okutuuma Pentagon yakutandika nga 28 January,2024.
Agambye nti luno House of prayer kwegenda okujaguliza emyaka 15, n’omusingi gwa Pentagon kwegugenda okusimibwa.
Bugingo abadde mu maka ge e Namayumba mu Wakiso, agambye nti azze afuna obubaka obuyita ku mitimbagano obulaga nga Pentagon bwetakyazimbiddwa, n’agamba nti buli kimu ekyetaagisa okuzimba Pentagon yakitegeka, era nti n’ekimu ku bisenge ebigenda okubeera ku kanisa eyo agenda kukituuma Richard Muhumuza .
” Olwo abagamba nti Pentagon ssi yakuzimbibwa babiggya kwani?” nze nebwenfa olwaleero Pentagon yakuzimbibwa” pastor Bugingo
Annyonyodde nti mukama yamugamba nti ekizimbe kya Pentagon ekimanyiddwa ennyo eri mu America nti era ewasinga okutegekerwa entalo, namulagira nti ne kanisa ye agituume Pentagon era yo wagenda kutegekerwayo ntalo zakulwanyisa sitaani n’okulyowa emyoyo.
“sitani annumbye era ankoze ebintu bingi naye era nsigala ku kituuti, era eky’okuvibwako Muhumuza kyekiseera ekisinga obunene mu bulamu kyemaze nga ssiri ku kituuti” Bugingo
Agambye nti kimukwasa ennaku olw’abavubuka abamalira obudde mu kutyoboola abakulembeze mu kifo ky’okukola ebintu eby’omuzinzi ebibatwala mu maaso.
Pastor Aloysius Bugingo kigambibwa nti emmotoka ye yasindirirwa amasasi 11 mu kitundu kye Bbawalakata Namungoona mu Lubaga bweyalj adda ewuwe e Namayumba, omusanvu gaakwata mukuumiwe,agasigadde negakwasa pastor ku mukono ne mu mugongo.
Pastor Bugingo nga yategeeza nti yeyali avuga emmotoka, era yalwana okuddusa omukuumi we Richard Muhumuza mu ddwaliro e Mulago, wabula teyasimattuka naafa.
Bisakiddwa: Tamale GeorgeWilliam