Parliament nate ezeemu okuyisa etteeka eriziyiza okusaasaana kw’ omuze gw’ebisiyaga mu ggwanga, n’okukangavvula ababyenyigiramu, eryakomezebwawo president.
Bweyali azaayo etteeka lino eri parliament, president Museven yanokolayo ensonga 4 ezaali zetaaga okutereeza, okwali ennyingo ekwata ku kubudabuda abantu ababadde mu muze gw’obusiyazi, ensonga ekwata ku kuwaabira abantu abateeberezebwa okwenyigira mu muze gw’obusiyazi, n’ensonga ekwata ku bannanyini bifo omukolebwa omuze gw’obusiyazi
Akakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka, mu alipoota yaako essomeddwa ssentebe waako Robinah Rwakoojo eri parliament, kakaanyiza ne president w’eggwanga nekagyamu ennyingo eyogera ku kyokukangavvula omuntu ateberezebwa okubeera omuli webisiyaga, akakiiko kasazeewo nti omuntu avunanibwenga okusinziira ku musango gwaba yenyigiddemu ogwobuli bwebisiyaga So ssi kuvunaanibwa olwendabika ye n’enfanaana ye.
Wabula Omubaka wa west Budama North East Fox Odoi Nate era ayanjudde alipoota y’ababaka abatono, ewakanya etteeka lino lyonna n’ennyingo zonna president w’eggwanga zeyazaayo mu parliament
Fox Odoi abadde abuulidde palament nti etteeka lino lyonna lisuulibwe mu kasero, kubanga kikontana ne ssemateeka w@eggwanga.
Oluvanyuma, wabaddewo okussoma linnya ku linnya agababaka okusalawo ku tteeka lino.
Gyebigweredde ng’aababaka 341 bawagidde etteeka lino liyisibwe ,omuzze gw’ebisiyaga gulwanyisibwe mu ggwanga.
Amyuka ssaabaminisita w’eggwanga owokusatu, Hajjat Rukiya Nakadama abuulidde parliament nti eggwanga terisobola kusuula nnono n’empisa zaalyo, olw’okweguya obuyambi obuva mu mawanga n’ebitongole ebitiitiibya abenyigira mu muze guno.
Cue in …Rukiya ennono
Ssabawolereza wa gavument Kiryoowa Kiwanuka abuulidde parliament nti government netegefu okussa etteeka lino mu nkola ,oluvanyuma lw’okuddamu okulyetegereza.
Akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba abuulidde parliament nti buvunanyizibwa bwa buli munnansi kaabe omubaka wa parliament okukuuma n’okutambulira ku mpisa z’eggwanga, n’obutakkiriza mpisa nkoperere okwefuga ensi Uganda
Sipiika wa parliament Anita Annet Among alabudde ababaka ba parliament okwewala embeera ey’okusikirizibwa ensimbi batunde empisa z’eggwanga.
Etteeka lino nga parliament bwezeemu okuliyisa, egenda kuddamu okulisindika eri president w’eggwanga okulisaako omukono, yanasalawo oba alisaako omukono oba aligoba#