Parliament etaddewo olwa Tuesday nga 10 September,2024 okutuuza olutuula lwa parliament olwenjawulo okukungubagira n’okusiima emirimu egikoleddwa abadde minister omubeezi ow’ebyokwerinda Sarah Nyirabashitsi Mateke afiiridde mu ddwaliro e Mengo.
Minister Mateke alumbiddwa ekirwadde ky’omutima ng’obudde bukya nga 07 September,2024 n’addusibwa mu ddwaliro e Mengo, wabula abadde yakatuusibwayo n’assa ogw’enkomerero.
Omugenzi Sarah Nyirabashitsi Mateke yabadde omubaka omukyala owa district ye Kisoro nga yalondebwa mu January omwaka 2021.
President Museven yasooka kumulonda okubeera minister omubeezi ow’abaana n’abavubuka, oluvannyuma n’amukyusa n’afuuka minister omubeezi ow’ebyokwerinda.
Mu ngeri yeemu sipiika wa parliament Anita Annet Among alangiridde nti watereddwawo akakiiko akagenda okukukwasaganya enteekateeka zonna ozokusiibula minister Sarah Mateke.
Mu nteekateeka eno, Parliament ekwataganye n’ebitongole bya government ebirala okuli ministry y’ebyokwerinda minister gyabadde akolera nga minister n’ebitongole ebirala.
Minister Mateke wakuziikibwa nga 12 September,2024.