Parliament eyisizza ekiteeso eky’okusiima emirimu gy’abadde Omubaka omukyala owa district ye Dokolo Cecilia Barbra Atim Ogwal,nesaba government okussaawo ekintu ekyenjawulo ng’ekijjukizo ky’okumusiima olw’ebintu byakoledde eggwanga.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven n’omukyala Janet Kaguta Museven bakungubagidde Cecilia, era president Museven amwogeddeko ng’omuntu abadde amanyi okuzannya eby’obufuzi ebitaliimu kumetta balala nziro, era ebizingamya nkulaakulana.
Ekiteeso eky’okusiima Cecilia kireteddwa Ssabaminister w’egwanga Robinah Nabanja Musaafiri nekisembebwa Amyuka president w’egwanga Jesca Alupo, akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi, Nampala wa government Hamson Denis Obua, akulira ababaka abatalina kibiina David Zijjan, n’ababaka abalala.
Sabaminister Robinah Nabbanja ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde owenjawulo, omukunganya w’abantu bonna, nga n’ekisinga obukulu abadde tarina ntalo zabyabufuzi ngera abadde nfanfe w’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Olutuula luno lwetabiddwako abakungu abebiti ebyenjawulo omubadde President w’ekibiina Kya FDC Patrick Oboi Amuriat, eyari vice President w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Ssabalamuzi w’eggwanga AlFonse Owiny Dollo,eyali ssentebe w’akakiiko kebyokulonda Eng Badru Kiggundu, ababaka ba parliament abaavaako, abenganda n’emikwano gy’omugenzi.
Akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel ssenyonyi alaze enyiike olw’eggwanga okufiirwa omuntu ngono abadde omusaale mukulwanirira eddembe naddala ery’abakyala newankubadde nga wafiiridde ng’ekirooto kye tekinatuukirira.
Minister w’ensonga za East Africa Rt Hon Alitwala Rebecca Kadaaga, minister w’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Mao, n’omumyuka w’omukulembezze w’eggwanga Jesca Alupo, omugenzi bamwogeddeko ng’omuntu abadde ateetiirira, omumalirivu ng’era eggwanga lyakumusubwa ebitagambika.
Sipiika wa parliament Anitah Annet Among asinzidde wano n’agamba ng’omugenzi bw’abadde alina omukwano ogwanamaddala atasosola mu bantu ng’era asikirizza abantu bangi naddala abakyala okwessogga ebyobufuzi olwebikolwa bye okubeera ebirungi.
Sipiika Among asabye muwala w’omugenzi omukulu Rose Mary Arochi Ogwal okusigala ng’atambuzza omukululo gwa maama we erinnya lye lyakoreredde ebbanga lireme kufa mangu.
Ababaka okuli owa Erute County South Odur Jonathan, owa Dokolo North Ogwal Moses n’abalala, basabye wabeewo ekijjukizo ekyenjawulo ekibbulwa mu linnya lye ng’akabonero akokumujjukira.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith