Akakiiko ka parliament akalondoola obutonde bwensi ,amafuta n’obugagga obwensibo kagala government ezimbeyo etterekero ly’amafuta mu kibuga Kampala, ng’omu ku kawefube w’okukendeeza ebbeeyi y’amafuuta epaaluuka buli kadde.
Ekirowoozo ky’akakiiko kyanjuddwa eri parliament nti government enoonye obuwumbi 254 bussibwe mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023.
Etterekero ly’amafuta lino singa linaaba lizimbiddwa kagala lituumibwe Kampala Fuel storage terminal.
Ekirowoozo kino kyanjuddwa ssentebe wakakiiko ka parliament Kano Dr Emmanuel Otala, nga bakitadde mu alipoota eyavudde mu kwekeneenya embalirira yebitongole okuli eky’amazzi,obutonde bwensi, amafuta ,obugagga obwensibo n’amasanyalaze eyomwaka gw’ebyensimbi ogujja 2022/2023.
Dr Emmanuel Otala abuulidde parliament nti etterekero lye Jinja eryazimbibwa government ya Iddi Amin nti lyeryokka government lyerina.
Agambye nti amafuta agaterekebwamu mattono nnyo tegalina kyegasobola kuyamba ggwanga mu mbeera eyakatyabaga.
Kampuni z’obwannanyini zezisinza amaterekero g’amafuta amangi mu ggwanga, ekiteeka eby’okwerinda n’ebyenfuna by’eggwanga mu katyabaga.
Waliwo oluvuuvuumo oluzze luyitingana nti ebbeeyi y’amafuta eremedde waggulu yatandikira ku bannyini kampuni okugakweka basobole okugatunda ku bbeeyi ya waggulu.
Mu kusooka baategeeza nti kyava ku bagoba b’emmotoka eIgatambuza olw’okubasaako obukwakkulizo obungi okugemwa Covid 19 nebekalakaasa.
Wabula obukwakkulizo obwo nebwebwajibwawo ebbeeyi yasigala erinnya, ensonga endala wezegattirako naddala ey’olutalo lwe Russia.
Mu kiseera kino liita y’amafuta ga Petrol eri mu 5300 okudda waggulu, ate diesel etandikira mu 4900 okudda waggulu