Obukiiko bwa parliament bwakumala ennaku ezitasukka 45 nga bwekenneenya ennoongosereza mu mateeka agasaawo ebitongole government byeyagala okugatta.
Ennoongosereza zikwata ku bitongole okuli eky’emmwaanyi ki UCDA, ekya NAADS ekya Diary Development Authority, Cotton Development Authority government byeyagala okugyako obuyinza butwalibwe mu ministry yebyobulimi n’obulunzi
Ebitongole ebirala kuliko ekya NITA-U, ekitongole ki UNRA, ekitongole ky’ebibira nebirala.
Ennongosereza mu mateeka agasaawo ebitongole okuli UCDA nebirala ebikwaata ku by’obulimi n’obulunzi, government byeyagala okuzza mu ministry y’ebyobulimi zanjuddwa eri parliament minister webyobulimi Frank Tumwebaze
Songa ennongosereza mu tteeka ly’enguudo eryasaawo ekitongole ki UNRA zanjuddwa minister wenyentambula Gen Edward Katumba Wamala
Amyuuka sipiika Thomas Tayebwa amabago gano gonna, asindiise eri obukiiko bwa parliament obukwatibwako ebitongole ebyo okugekeneenya mu bbanga lya nnaku 45.#