Ababaka ba parliament nga tebeetemyemu batabukidde ministry y’ebyensimbi olw’okusala ku mbalirira ya parliament negisalako ebitundu 50% mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2024/2025.
Sipiika wa parliament Anita Annet Among bw’abadde aggulayo olutuula lwa parliament agambye nti yafunye okutegeezebwa okuva eri ministry y’ebyensimbi nti mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja yasaliddwa.
Sipiika atadde ba minister ku nninga banyonyole parliament kwebaasinzidde okusala embalirira yaayo, ekiraga nti n’emisaala gy’ababaka gyasaliddwa.
Nampala wa government mu parliament Hamson Obua mukwanukula olwakazito akamuteereddwako, agambye nti ekyakoleddwa okusala embalirira ya parliament kikyaamu era kimenya amateeka.
Josseph Gonzaga Ssewungu omubaka wa Kalungu West, Sarah Opendi omubaka omukyala owa district ye Tororo, Nathan Byanyima omubaka wa Bukanga North nabalala bakangudde ku ddoboozi, nga balumiriza abakulu mu ministry y’ebyensimbi okunyomoola parliament.
Ababaka bano olukongoolo balusimbye ku muteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi era avunanyizibwa ku ggwanika ly’eggwanga.
Ebyo nga bikyaali bityo, government okuyita mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekateeka eyanjudde embalirira y’eggwanga eri parliament eyo’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 ya trillion 58 n’obuwumbi 340, ngeno erinnye okuva ku trillion 52 n’obuwumbi 700 ey’omwaka 2023 /2024.
Embalirira y’eggwanga eyomwaka 2024/2025 eyanjuddwa minister omubeezi owebyensimbi Henry Musaazizi yeyongeddemu trillion 6 okuva kweeyo eyomwaka 2023/2024.
Government era eyanjudde ennongosereza mu mateeka agafuga emisolo government gegenda okuyitamu okukungaanya omusolo okuwanirira embalirira y’eggwanga ey’omwaka gwebyensimbi oguggya 2024/204.
Ennongosereza mu misolo gino kuliko ogwa Value Added Amendment bill, Withholding Tax Amendment Bill, Income tax Amendment Bill, Tax Procedures Code Amendment Bill ne Stamp Duty Amendment bill.#