Parliament atangazizza ku Nsimbi obukadde bwa shs 500 ezaweebwa Mathias Mpuuga Nsamba oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gy’ekifo ky’akulira oludda oluwabula government mu parliament, nti ensimbi zino tezaalimu nguzi wabula kaali kasiimo akaamuwebwa okumwebaza emirimu gyeyakolera parliament.
Omwogezi wa parliament Chris Obore ategezeezza nti parliament yetongodde mu nkola y’emirimu omuli n’okusiima abakozi abakoze obulungi emirimu.
Chris Obore ategeezeeza nti ensimbi obukadde 500 ezaweebwa Mathias Mpuuga ziweebwa nabakulembeeze abalala ababeera bakoleredde parliament emirimu.egyensusso.
Ebyo nga bikyaali awo Mathias Mpuuga Nsamba nga ye mubaka wa Nyendo Mukungwe akalambidde agaanye okulekulira ku kifo kyobwa commissioner bwa Parliament nga bweyasabiddwa abukulembeze bw’ekibiina kya National Unity platform.
NUP yafulumizza ekiwandiiko, ng’eragira Mpuuga nti alekulire ekifo ekyo kyeyakamalako emyezi egy’olubatu, ng’abakikulira bagamba nti yabadde tateekeddwa kukkiriza kutwala nsimbi ezo obukadde bwa shs 500 parliament zeyamuwadde ng’akasiimo.
Nup yategeezezza mu kiwandiiko kyayo nti Mpuuga okukkiriza ensimbi ezo yalidde nguzi.
Mu kiwandiiko Mathias Mpuuga kyafulumizza; agambye nti kikafuuwe okulekulira ekifo ky’obwa Commisoner wa Parliament.
Agambye nti amateeka agafuga Parliament galambika bulungi, emitendera egiyitibwamu olukiiko olufuga Parliament oluyitibwa Parliamentary Commission, okusiima omuntu yenna akoledde eggwanga lino, era emitendera egyo gye gyagobereddwa okumusiima n’aweebwa ensimbi ezo nga teri abakase.
Mpuuga agambye nti bwe kibanga okusiima omuntu eba nguzi; kisaanye kirangirirwe nti n’obusiimo bwonna obuzze buweebwa ababaka ba Parliament zonna ezaayita ne mu Parliament eziriwo kati, obuyitibwa Honorary Gratuity, nti bakomyewo ensimbi ezo bwekibanga yonna nguzi.
Mu kiwandiiko kino; Owek Mpuuga ayogedde kaati nti akimanyi bulungi nti waliwo olutalo kasiggu munda mu kibiina ekyo ekya NUP olw’okumulwanyisa, era nga waliwo n’abavujjirira olutalo olwo, abakola obutaweera okumwonoonera erinnya ly’azimbidde emyaka, kyokka ne yeewera nti mwetegefu okukisasulira omuwendo olw’okutaasa ekibiina kino ekito ddala.
Mpuuga agambye nti okweyagaliza kususse munda mu NUP; enkwe nnyingi, effutwa, effubitizi n’enge bisensedde ekibiina olw’omululu oguli mu beeyita abakitegeerera.
Owek Mpuuga akinogaanyizza nti waliwo akabondo ak’abantu abatono, akamaliridde okudibaga ekibiina kino, wabula nti mwetegefu okuyambako abakulembeze mu kibiina ekyo okubazimbamu eby’obufuzi eby’ekisajjakikulu, kisigale ku mulamwa ogwakitandisaawo.
Agambye nti yeetegekedde embeera enzibu yonna; bwekiba nga ky’ekinaakomyawo amagezi amazaale mu by’obufuzi bya Uganda.
Akubidde yeewera nti tagenda kukkiriza kutiisibwatiisibwa bantu abeeyagaliza, abalowooza nti ebimwogerwako binaamufuula atasaanira kukulembera bantu.#