Akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku kwekenneenya abantu ababeera balondeddwa omukukembeze we ggwanga ( vetting committee) kasunsudde abantu 7 abatuula ku kakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission.
Akakiiko kano nga kakulemberwa sipiika wa parliament Anitah Annet Among,kasunsudde Omulamuzi Simon Byabakama nga ssentebe,, Hajjati Aisha Lubega omumyuka,James Peter Emorut, Stephen Tashobya, Anthony Okello, Dr. Simba Ssallie Kayunga ne Caroline Bainamaryo.
Wabula oluvannyuma lw’okusunsulwa bakubye abamawulire ekimmooni, babalese bakonkomalidde ku parliament webabadde babalindiridde gyebayise teri ategeddeyo.
Wabula ekyewunyisiza ge mannya ga bantu abaleeteddwa okusunsulwa nga erya Robert Kasule Ssebunnya Kibirige teririiko, wadde nga ku lukalala olwasooka yaliko, ate Caroline Bayinamaryo asusnsuddwa teyariiko ku lukalala olwasooka okufulumizibwa.
Oluvannyuma bannamawulire boogeddeko n’ababaka abatuula ku kakiiko akasunsula era Omubaka wa Bubulo East John Musira ategeezezza nti okutwaliza awamu enteekateeka zonna ezokusunsula zitambudde bulung
Ye omubaka omukyala owa Butambala Aisha Kabanda nga naye atuula ku kakiiko kano agamba tebabadde bamativu n’abantu abaalondeddwa eranga ayagala wabeewo enkyukakyuka mu kulondebwa kwa bantu bano abatwala eby’okulonda.
Omulamuzi Simon Byabakama yayongeddwa ekisanja omulundi ogwokubiri okuddamu okukulembera akakiiko kano.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith