Parliamenti egobye ebbago ly’etteeka government mwebadde eyagala okuyita okugyawo ekitongole kyeggwanga ekyenguudo ki Uganda national Roads Authority, obuvunanyizibwa bwakyo ebutwale mu ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Parliament okugoba ennongosereza zino, esinzidde ku alipoota evudde mu kakiiko kaayo akalondoola ebyentambula n’enguudo,akagaanyi okusemba enteekateeka ya government.
Minister w’enyenyambula Gen Edward Katumba Wamala abuulidde parliament nti okugyawo ekitongole kino, eggwanga lyakufissa ensimbi obuwumbi 39 ezibadde zigenda mu kusasula emisaala ,kale nga ensimbi zino zakwongerebwa kwezo ezikola enguudo ,eggwanga lifune enguudo eziwerako.
Gen Edward Katumba agambye nti ekitongole kisaasaanya ensimbi obuwumbi 71 okusasula emisaala gy’abakozi baakyo 1,544 buli mwaka.
Ssentebe wakakiiko Ka Parliament Kano akalondoola ebizimbe ,ettaka n’ebyentambula Dan Kimosho mu alipoota gyasomedde parliament agambye nti obweru bwa government ku nsonga eno bubuzeemu naddala ku nsimbi ezigenda okusaasaanyizibwa okuliyirira abakozi ba UNRA singa ekitongole kiggyibwawo.
Agambye nti wadde governemnt enyonyola obuwumbi 11, ensimbi entuufu ez’okusaasaanyizibwa okuliyirira abakozi bekitongole kino ziri obuwumbi 224.
Daniel Kimosho agambye nti era bakizudde nti ministry y’ebyentambula terina busobozi bukola nguudo ,naagamba nti ensi ezakulakulana ezirina enguudo eziriko yadde yaddeko zonna zirina ebitongole ebikola enguudo nga ekya UNRA
Ababaka basinzidde ku alipoota eno, nebagoba ennongosereza za government mwebadde eyagala okuyita okugyawo ekitongole ki UNRA.
Wabula minister wenyenyambula Gen Katumba Wamala agaanyi okupondooka, agambye agenda kuddayo yetegereze ebbago erigobeddwa, akolemu ennongosereza azizeeyo mu parliament.