Omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi ayanjulidde Parliament ebbago eppya erirungamya abantu okufuna embuto nebazaala abaana nga beyambisa Technology, erituumiddwa ” The Human Assisted Reproductive Technology Bill,2023.”
Abantu abamu babadde bakozesa enkola zino mu Uganda, omuli omukyala okukubwa enkwaso z’abasajja mu nkola ya vitro fertilization treatment “IVF” ne intrauterine insermination nendala nyingi, saako abakyala okwetikkira bakyala banabwe embuto (Serogacy), wabula nga tewabaddeewo tteeka lirambika nkola zino.
Ebbago lino ligendereddwamu okulungamya amalwaliro abantu gyebagenda okubayamba okubafunira ababyamba okubazaalira abaana nga tebalina bakitaabwe.
Lirimu okukuuma eddembe ly’omuntu ery’ababagala okuzaala, abakuza embuto,, omwana abeera agenda okuzaalibwa,okulambika ebifo ebirina okukolebwamu enkola zino, okulambika ebifo awakuumibwa enkwaso n’ebirala.
Omubaka Sarah Opendi agambye nti waliwo amalwaliro agawa abantu enkwaso naye nga tegalina lukusa, nti etteeka lino ligenda kulungamya byonna ebikolebwa amalwaliro gano.
Opendi ategeezezza Parliament nga bweyakoze okunoonyereza okumala ku bwetaavu bw’etteeka lino ng’era asuubizza nti bannauganda bakuganyulwamu.
Omubaka agamba nti kyetaagisa abafumbo bokka bebaba bagenda okufuna enkwaso okumalawo okuzaala abaana abataliiko bazadde.
Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa Bangirana ebbago lino alisindise mu kakiiko ka Parliament ak’ebyobulamu kalyekennenye kawe alipoota ku byabanaaba bazudde mu nnaku 45.
Mu kiseera kino amalwaliro geyongedde mu Uganda agayamba abantu abatalina busobozi kuzaala; abakazi n’abasajja okufuna abaana nga beyambisa enkola za technology.
Omuntu ayagala okufuna omwana mu nkola ezo asasula obukadde bwa shs obutakka wansi wa 15.