Parliament eragidde police, ministry y’emirimu enguudo n’entambula n’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA okweddiza mmotoka zonna ezi parking ku mabbali genguudo.
Ekiragiro kino kiyisidwa Sipiika wa parliament Anita Annet Among mu bubaka bwe obuguddewo olutuula lwa parliament, bwebadde ekungubagira eyaliko omubaka wa Erute North Charles Gutomoi n’o musuubuzi Apollo Nyegamehe abadde amanyidwa nga Aponye abaafiridde mu bubenje bw’okunguudo ezenjawulo.
Emmotoka ya Aponye yatomedde ekimotoka ekyabadde kisimbye ku luguudo, era n’afiirawo mu kabenje.
Sipiika awo wasinzide n’alagira police okusika emmotoka zonna ezinasangibwa nga zisimbye ku mabbali g’enguudo zitwalibwe ku police.
Sipiika agambye nti a bannanyini mmotoka ezo bakusookanga kuwaayo engassi baddizibw emmotoka zabwe.
Sipiika era ategeezezza nti kati ne government yadembe okufuna kampuni eyobwanannyini egiwe contract etandike okukola omulimu ogwo, kiyambeko okukendeeza ku bubenje obusaana okwewalibwa ku nguudo.
Sipiika era ategeezezza nti eky’okusika emmotoka ezisimba ku nguudo kiri mu tteeka erifuga enkozesa y’enguudo erya road safety act 2019.
Okusinziira ku kawaayiro 58 mu tteeka eryo kalagira okuwamba oba okusiika emMotoka zonna ezinaAsangibwa nga zisimbye ku mabbali g’enguudo.
sipiika era atabukidde abobuyinzza abalina okukwasisa amateeka g’okunguudo nti bebaleetedde obubenjje okweyongera mu Ugand,a nti kuba okuva parliament lwe yayisa etteeka eryo erya road safety act 2019 president naaliteekako omukono, abavunanyizibwa okuliteekese mu nkola besulirayo gwa nnagamba.
Okusinziira ku alipoota ya police ya Uganda eya 2022 ekwata ku bubenje, obwagwawo bwali 20,343 mwafiiramu abantu 17,443
Bisakiddwa: Ssebadduka John Paul