Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa alagidde minister w’ebyentambula ne police mu bwangu banonyereze ku bivuddeko obubenje mu ggwanga okweyongera , obutwaliddemu obulamu bwabantu abawerako.
Thomas Tayebwa bwabadde aggulawo olutuula lwa Parliament anokoddeyo akabenje ka bus ya kampuni ya Link, akagudde ku luguudo lwa Fortportal –Kyenjojo, abantu 20 bebakafiiriddemu.
Wabaddewo akasiirikiriro mu lutuula lwa palament luno, okujjukira emyoyo gy’abafiiridde mu kabenje kano.
Abantu abalala mukaaga bafiiridde mu kabenje akagudde mu kitundu ekiyitibwa Mailo taano ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi,ku lutindo lw’omugga Namatala.
Mmotoka 3 zitomereganye mu kabenje kano,okuli Raum UAT 995A , eza taxi bbiri Toyota Hiace UBH 437K ne UBJ 676W Toyota Hiace.
Okusinziira ku police abafiiridde ku lw’e Mbale kuliko Mulabi David, Namarome Fatima, Nambafu kurusum, Kafeero Isaaka, sso nga amannya g’abalala abafudde teganategerekeka.
Abafunye ebisago eby’amaanyi kuliko Nandigobe Saida abalala tebanategerekeka mannya, bonna batwaliddwa mu ddwaliro lya Mbale regional Refferal hospital.
Police egamba nti ekivuddeko akabenje kano kubadde kuvugisa kimama, era ba ddereeva bonna badduse.