Kyaddaaki alipoota ekwata ku mmwanyi eyavudde mukwekenenya endagaano government gyeyakola ne Vinci Coffee Company Ltd eya musiga nsimbi omukyala omu Italy Enrica Pineti, eyanjuddwa mu parliament ng’esemba endagaano eno esazibwemu.
Ababaka bagikubaganyizaako ebirowoozo mu kiro.
Alipoota eno esomeddwa ssentebbe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi Mwiine Mpaka, enokoddeyo ensobi ne vvulugu eyakolebwa mu kuteeka omukono ku ndagaano eno.
Akakiiko kalambise nti endagaano eno esaanye
esazibwemu mu bbanga lyamyezi esatu,okuva alipoota eno lwessomeddwa mu parliament.
Alipoota eno ekinogaanyizza nti minister webyensimbi Matia Kasaija okwewa obuyinza okusonyiwa kampuni eno emisolo kyali kikyamu, era nga kimenya amateeka ,nti kubanga obuyinza buno bwa parliament.
Kanyonyodde nti okuwa kampuni Eno obuyinza okugula emmwaanyi nookugereka emiwendo gyazo nakyo kimenya amateeka g’eggwanga lino.
Akakiiiko Kano era kalumiriza abakulu mu government eno okuli minister Matia Kasaija, Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka nabakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi, okulemererwa okukola emirimu gyabwe ,government neteeka omukono ku ndagaano efanaana bweti.
Alipoota ekinogaanyiza nti kampuni eno eya Vinci okuweebwa contract ,tewaali kunonyereza kwonna kwakolebwa nti yalina obusobozi okukola omulimu guno.
Kasabye nti abakulu bonna abetaba mu kukola endagaano eno bakangavvulwe.
Alipoota eraze nti kampuni ya Vinci coffee company ltd terina nsimbi ezokuzimba kampuni ekola kaawa, so ngeera terina bumanyirivu bwonna mu mulimu gwe mmwanyi.
Mu ngeri yeemu endagaano eno terina kiseera kyassalira kirambika ekkolero eryo weririn okumalirizibwa, n’ ebibonerezo singa kampuni ya VINCI eneremererwa okuzimba ekkolero.
Abalimi bemmqanyi tebebuuzibwako nga endagaano eno ekolebwa, ekirinyirira eddembe lyabwe.
Ababaka basembye nti kampuni zakuno ezikola kaawa nazo ziweebwe omukisa, ate era governmenf ezikwatizeeko zenyigire mu kwongera omutindo ku mmwaanyi.
Egiragidde nti bweba eyagala okukolagana ne musiga nsimbi ono erina okuddamu okuteseganya naye buto, nga egoberedde amateeka.
Sipiika wa parliament Anita Among agambye nti ensonga ya president tesanidde kubuusibwa maaso, era nayo yakutunuulirwa.
Omubaka wa Bukomansimbi South Godfrey Kayemba Solo omu ku babaka abaakoze alipoota eno agambye nti bagala parliament eyise alipoota eno nga bweeri , ebyenfuna byabannansi ebiyimiriddewo ku mwaanyi bireme kulinnyirirwa mu nkola eyefaananyiriza ey’okuzannya zzaala.
Parliament emalirizza eragidde government endagaano esazibwemu yonna, olwo oluvannyuma lw’emyezi mukaaga ekomewo etegeeze parliament ebinaaba bituukiddwako.