President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asuulidde ddala mu kasero okusalawo kwa parliament bwazeemu okulonda minister omubeezi ow’amayumba Persis Namuganza ku kifo kyabaddemu wadde nga parliament yali yamuggyamu obwesige.
Mu January w’omwaka ogwayita 2023 ababaka 348 ku babaka 556 bebaalonda okugoba minister Namuganza, nga bamulanga okusiwuuka empisa nalengezza sipiika wa parliament Anita Annet Among.
Sipiika yawandiikira president ng’amutegeeza kukusalawo kwa parliament era n’asaba president akiteekese mu nkola, wabula n’okutuusa leero ebbaluwa eddamu sipiika ku nsonga eno terabikanga.
Mu nkyukakyuka omukulembeze w’eggwanga zeyakoze, minister Persis Namuganza yasigadde nga ye minister omubeezi ow’amayumba ne kyongera okunafuya okusalawo kwa parliament ku kyokugoba minister Namuganza ku bwa minister.
Ba minister abaasuliddwa kuliko abadde owe Kalamoja Mary Gorret Kitutu n’abadde omubeezi we Agnes Nandutu, nga bano bombi bakyattunka n’emisango gy’okwezibika amabaati agagambibwa nti gaalina okuweebwa abawejjere mu kitundu kye Kalamoja, bbo nebasalawo okugegabira, nebawaako ba minister abamu, wamu ne sipiika Anita Annet Among.
Abalala abaasuuliddwa kuliko Harriet Ntabaazi abadde omubeezi ow’obusuubuzi, amakolero n’obwegassi, saako Grace Kwiyucwunyi abadde minister omubeezi ow’obukiika kkono bwa Uganda, afuuse muwi w’amagezi ne Vincent BamulangakI Ssempijja abadde ow’ebyokwerinda afuuse muwi w’amagezi.
Ba minister abaggya abalabikidde ku lukalala lwa ba minister mu nkyukakyuka ezaakoleddwa, abamu ku banna kisinde kya Patriotic League of Uganda nabo bagudde mu bifo okuli, Balamu Barugahare nga kati ye minister akolaku nsonga z’abavubuka n’abaana, Lillian Aber omubaka omukyala owa district y’e Kitgum kati ye minister omubeezi ow’ebigwa tebiraze.
Abalala abalondeddwa kuliko omubaka omukyala ow’abavubuka mu ggwanga Phiona Nyamutooro kati ye minister omubeezi ow’obugagga obwomuttaka, Gen Wilson Mbasu Mbadi abadde omuduumizi wa magye kati ye minister omubeezi ow’obusuubuzi amakolero n’obwegasi, ate Mutabani w’omulembeze we ggwanga Gen Muhoozi Kayinerugaba yazze mu kifo kya Mbadi.
Dr Kenneth Omona abadde principal private secretary wa president kati ye minister avunaanyizibwa ku nsonga z’obukiika kkono bwa Uganda.