Speaker
Joel Besekezi Ssenyonyi Omubaka wa Nakawa West mubutongole akakasiddwa ku kifo ky’akulira oludda oluvaganya government mu parliament.
Ssenyonyi azze mu bigere bya Mathias Mpuuga Nsamba afuuse Commisioner wa Parliament.
NRM ekomezaawo ba Commisioner basatu ababaddeko okuli Solomon Silwaanyi , Prossy Akanpulira ne Esther Afoyochan .
Wabula omubaka Alion Yorke Odria yemulugunyizza olwa NRM okukomyawo ababaka abo ku bwa Commissioner, nga tebasoose kuyita mu kamyufu k’ekibiina.
Wabula sipiika okwemulugunya akugobye era n’abuuza oba nga wabaddewo.abasemba abalondeddwa, bwebatyo nebaddamu okukakasibwa.
Bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament sipiika Annita Among agmbye nti akulira oludda oluvuganya government omuggya Joel Besekezi Ssenyonyi bwaba wakukola bulungi ku kifo kino ateekeddwa okumwebuzangaako.

Sipiika Among yebazizza Mathias Mpuuga Nsamba olw’okwoleesa eby’obufuzi eby’ekisajja kikulu mu kiseera waabereedde nga yakulira oludda oluvuganya government.
Commissioner wa Parliament akiikirira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza ekibiina kye ki NUP olw’okumuwa omukisa okuweereza nga akulira oludda oluvuganya gavumenti emyaka ebbiri n’ekitundu egiyise .
Mpuuga asabye abantu abali mu bifo by’obukulembeeze okubikozesa okukyusa ekifaananyi kye ggwangwa , era asuubizza nti wakukolera wamu nakulira oludda oluvuganya government omuggya Joel Ssenyonyi okuggusa ensonga zebatakabanira.
Akulira oludda oluganya government omuggya Joel Ssenyonyi yeyamye okukolagana n’ababaka bonna okutuukiriza obuvunanyizibwa bw’akwasiddwa.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius