Parliament egobye okunyonyola kwa minister omubeezi ow’ebyobusuubuzi Harriet Ntabaazi ku kiviiriddeko emiwendo gyebintu ebikozesebwa mu bulamu ba bulijjo n’amafuta okulinnya.
Minister agambye nti emiwendo gy’ebintu mu Uganda girinnye kitono bwogerageranya n’amawanga amalala.
Minister era ategeezezza nti ekisinze okwongeza ebbeeyi y’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu yavudde ku mafuta agazze galinnya,olutalo lwa Russia ne Ukraine ,abasuubuzi abasazeewo okukweka ebyamaguzi nga bagala okubitunda ebbeeyi enene, akatale ka butto akamulwa mu binazi okweyongera ennyo mu China ne mu India ekireetedde ebbeeyi ya butto okweyongera.
Minister era agamba nti n’omusolo ogwa 10% ogwateekebwa ku ‘crude oil’ nakyo kiretedde emiwendo gyabutto nebintu ebiralal ebikolebwa mu ‘crude oil’nga sabbuuni nebirala okweyongera ebbeeyi.
Annyonyodde nti n’amawanga agasinga okuvaamu ‘crude oil’ nga Malaysia ne Indonesia nago tekyavayo awera.
Minister Harriet Ntabaazi era ategezezza parliament nti wadde guli gutyo,government ekyalwana n’okutema empenda ebbeeyi y’ebintu yakukka mu kiseera ekitali kyewala.
Wano Sipiika wa parliament wateeredde minister ku nninga abuulire parliament enteekateeka eyamangu ekolebwa okutaasa bannauganda,naddala eyebbeyi y’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo.
Minister amnyonyodde ku kya bbeeyi ya butto,n’agamba nti bongedde amaanyi mu kulima ebinazi okufunamu butto nga bakolagana ne kampuni ya BIDCO.
Ettaka okugenda okwongerwa ebinazi bino liri Kalangala,Buvuma,ebitundu bye Masaka ne Bundibugyo.
Mu ngeri yeemu ababaka batabukidde minister olwokugerageranya Uganda ku mawanga amalala bwekituka ku bbeeyi y’ebintu.
Bagambye nti ekyewunyisa nti n’ebikolebwa wano mu ggwanga ebbeeyi eri waggulu, omuli nebikolebwa amakolero agatasasula musolo.