Ababaka ba parliament 348 bebalonze nga basemba ekiteeso ekyokuggya obwesige mu Minister omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza.
Ababaka 5 bagaanye okukiwagira, so nga 3 baganye okwetaba mu kulonda.
Ababaka 356 bebetabye mu kulonda kwa leero.
Okusinziira ku mateeka ga parliament, ababaka 265 bebetaagibwa okusemba ekintu kyonna ekibeera kireeteddwa mu parliament.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa era nga yakubirizza olutuula luno, agambye nti parliament yakuwandiikira omukulembeze w’eggwanga okumutegeeza ku nsonga eno.#