Ssaabalangira wa Eklezia Omulambika, Omutukuva Ppaapa Francis, alonze omwepisikoopi w’essaza ly’e Nebbi Rt. Rev Raphael P’Mony Wokorach okubeera Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Gulu.
Amawulire gano ganjuddwa omubaka wa Ppaapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco mu lutikko e Nebbi.
Ssaabasumba omulonde Wokorach agenda kudda mu bigere bya Ssaabasumba John Baptist Odama eyawezezza emyaka egiwummula, era Ppaapa yakkirizza okusaba kwe okw’okuwummula.
Ppaapa alonze Ssaabasumba omuwummuze Odama okugira ng’alabirira n’okukuuma essaza ekkulu ery’e Gulu okutuusa ng’omulonde atuuziddwa.
Ssaabasumba omulonde Musaasolodooti mu kibiina ky’Abakombooni (Combonian Missionary of the Heart of Jesus).
Omubaka wa Ppaapa, Ssaabasumba Luigi Bianco yeebazizza Ssaabasumba omuwummuze John Baptist Odama olw’obuweereza ebw’emyaka 25 gy’amaze ng’akulembera essaza ekkulu ery’e Gulu.
Ssaabasumba Odama yalondebwa ku Bwepisikoopi mu 1996 ng’omusumba w’e Nebbi okutuusa mu 1999 lweyalondebwa ku kya Ssaabasumba w’e Gulu, era yeyasooka okulikulembera nga Ssaabassumba.
Abakulu mu lukiiko lw’abeepisikoopi ba Uganda bategeezezza nti olunaku Ssaabasumba omulonde lw’anaatuuzibwa lujja kulangirirwa mu bbanga ssi ddene mu maaso.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka