Ppaapa Emeritus Benedict XVI aziikiddwa mu ntaana yennyini omwali mwaziikibwa Ppaaka John Paul II gweyaddira mu bigere.
Ppaapa Paul oluvannyuma lw’okulangirirwa mu lubu lw’abatuukirivu , yasengulwa nassibwa mu kifo ekirala awakuumirwa ebisigalira bya ba Ppaapa abaafuuka abatuukirivu.
Mu byafaayo Ppaapa Francis ye Ppaapa ow’okubiri okusoma emmisa y’okuziika Ppaapa munne.
Eyasooka yali Ppaapa Pius eyasoma mmisa y’okuziika paapa eyasooka okulekulira emyaka egisoba mu 800 egiyise.
Paapa Benedict aziikiddwa enkumi nénkumi zábantu ababadde bakwatiridde mu luggya lya St.Peter’s Basirica e Vatican.
Yafa anga 31 December,2022 aziikiddwa nga 05 January 2023 mu lutikko yómutukuvu Petero.