Eklezia Katulika mu Uganda yeegasse ku nsi yonna okusoma Emmisa entongole okukungubagira Ppaapa Emeritus Benedict XVI eyafa ku nkomerero y’omwaka oguwedde ku myaka 95.
Ppaapa Benedict aziikiddwa olwaleero nga 5 January 2023 mu St.Peter’s Basirica e Vatican mu Rome.
Enkumi nénkumi zábantu betabye ku mukolo ogwókumuziika.
Emmisa enkulu mu Uganda eyimbiddwa ku Lutikko e Lubaga ng’ekulembeddwamu Omubaka wa Ppaapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco, ng’ayambibwako Abeepisikoopi abalala okubadde, Ssaabasumba Augustine Kasujja omubaka wa ppaapa eyawummula, Ssaabasumba Paul Ssemogerere, Bishop Dr. Joseph Anthony Zziwa era ssentebe w’olukiiko lw’abeepisikoopi mu Uganda n’abasasserdooti abalala nkumu.
Ssaabasumba Bianco ayogedde ku Ppaapa Benedict XVI ng’omuntu anaalwawo ng’ajjukirwa olw’engeri gy’eyakulemberamu Eklezia mu budde bwe.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere atenderezza Omugenzi Ppaapa Benedict gwayogeddeko ng’eyalwana obwezizingirire okunyweza ennono n’ebyafaayo bya Eklezia, naddala engaba y’essaakramentu ly’Obusosolodooti obutaweebwa bakazi, yalwanyisa nnyo enkola z’ekizaala ggumba ezitagoberera nnambika ya Klezia, ensonga z’obufumbo naddala obwekifuula nnenge.
Ku lw’abakristu mu Uganda, Ssentebe w’abeepisikoopi Dr. Joseph Anthony Zziwa asomye obubaka bweyawandiikidde Omutukuvu Ppaapa Francis ng’amukubagiza olw’okufiirwa munywanyiwe era gweyaddira mu bigere.
Ku lw’obwakabaka bwa Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga, asaasidde nnyo Eklezia w’Omukama mu nsi yonna, era nátendereza Omugenzi Ppaapa Benedict gwagambye nti obuweereza bwe yabutambuliza ku mpagi enkulu ssatu okuli; Obwetowaaze, Obunyiikivu n’okunywerera ku nsonga.
Katikkiro Mayiga agambye nti omukulembeze yenna asaana okukozesa eky’okulabirako kya paapa Benedict XVI okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaba aweereddwa.
Emmisa eno yeetabyemu ebikonge okubadde omubaka wa Italy mu Uganda Massimiliano Mazzanti, ababaka ba Parliament abakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya Government Mathias Mpuuga Nsamba, n’abantu ba Katonda abalala nkumu.
Oluvannyuma lw’ekitambiro kya missa, bakoleezezza emisubbaawa nebagiganzika okumpi n’ekifaanyanyi ky’omugenzi paapa Benedict XVI ng’akabonero ak’okukungubaga.
Mu ngeri yeemu ne mu ssaza ekkulu ery’e Gulu, Bishop John Baptist Odama akulembeddemu ekitambiro ky’e Mmisa kye kimu mu lutikko ya St. Josephs e Gulu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.