Missa ey’okusabira paapa Benedict XVI etandise mu klezia ya St Peters Basilica e Vatican, era gy’agenda okuziikibwa.
Ebikumi n’ebikumi by’a kristu bikungaanidde mu kibangirizi kya lutikko ya Basirica okumuwerekera.
Eklezia katulika munsi yonna etegese okusaba okwenjawulo, era wano mu Uganda Missa y’okusabira omwoyo gwa Ppapa Benedict XVI egenda kubeera ku Lutikko e Lubaga, kwakukulemberwamu omubaka wa paapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco.
Ebimu ku byafaayo ebizze bigobererwa mu kuziika ba paapa:
Paapa bw’aba afudde alina okwambazibwa ekyambalo ky’obwa paapa ekijjuvu, era tewali muntu yenna akkirizibwa kukwata mulambo gwe kifaananyi, nga tegwambaziddwa kyambalo.
Alina okuziikibwa wakati w’ennaku 4 ku 6 okuva ku lunaku lweyafiiriddeko. Paapa Benedict yafa nga 31 December,2022.
Paapa agalamizibwa mu kifo ekimanyiddwa nga Clementine chapel ekiri mu klezia ya St Peter’s Basilica, era abantu ba bulijjo gyebagenda okumukubirako eriiso evvanyuma.
Abantu abasoba mu mitwalo 200,000 bebakubye eriiso evvanyuma ku paapa Benedict, era yalaama nti aziikibwe mu ngeri ya kimpowooze.
Paapa Benedict abadde era takyali mukulembeze wa ggwanga, ate era abadde takyali Paapa omujjuvu oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gy’obwa paapa mu 2013 bweyategeeza nti yali awulira takyeyinza olw’embeera y’obulamu bwe.
Eklezia katulika gakkirizzaaki Amawanga abiri gokka, okuweereza abakulembeze b’amawanga ago mu bitiibwa byabwe ebijjuvu, okuli Italy ne Germany paapa Benedict XVI gy’azaalwa.
Wabula abakulembeze abalala basobola okugenda okuziika kulwabwe ng’abantu abalala.
Kino kyawukanako nga bwegwali mu 2005 mu kuziika paapa John Paul II, abakulembeze b’amawanga 100 bebaamuziika, kubanga ye weyafiira yali akyali paapa omujjuvu era omukulembeze we Vatican.
Ebirala ebigobererwa mu kuziika paapa
Paapa aziikibwa mu ssanduuko ssatu (Cypress coffin, Lead (zinc) coffin ne Elm (oak) coffin)
Cypress coffin yesooka munda, era eno yeraga akabonero nti paapa muntu era nti naye muntu wa bulijjo ng’abantu abalala.
Ssanduuko eno essibwamu obusawo obussibwamu ebinusu ebyakolebwa mu zzaabu, silver ne copper.
Buli nsawo ebeeramu omuwendo gw’ebinusu ebyenkanankana n’emyaka gy’obukulu paapa gy’abadde nagyo. (Paapa Benedict yafiiridde ku myaka 95)
Ssanduuko eya cypress coffin essibibwa bulungi n’obuwero 3 obwa silk, olwo n’eryoka essibwa mu ssanduuko eyokubiri eyitibwa Lead coffin.
Ku ssanduuko eya lead coffin kwekussibwa omusaalaba, erinnya lya paapa n’emyaka gy’abeera amaze ku bwa paapa.
Ssanduuko esemba ku ngulu eyitibwa Elm (oak) coffin yeraga ekitiibwa ky’obwa paapa.Era eno okugiggala ekubibwamu emisumaali egyakolebwa mu zzaabu.
Paapa yenna alina obuyinza okusalawo n’okulaama ekifo n’emibuga gyayagala aziikibwe ng’afudde.
Wabula ba paapa abasinga obungi baziikibwa mu St Peter’s Basilica era ewaaziikibwa omutukuvu Petero, ne Benedict gyagenda okuziikibwa.
Okusaba n’okukuma olumbe lwa paapa nga kuwedde, waliwo ekide ekikubwa nekivuga omulundi gumu, olwo ssanduuko omuziikiddwa paapa nessibwa mu ntaana, nekubikkibwako ejjinja eddene eribeera lizimbiddwa mu musenyu n’amayinja.
Wadde nga waliwo ebintu ebyenjawulo ebirambikibwa mu kuziika ba paapa, wabula bigenda byawukanamu mu ba paapa abenjawulo, nga bwebaba baalaama oba nga klezia bwebeera esazeewo mu kiseera ekyo.
Ku lunaku lwa Tuesday olwa wiiki eno, Vatican yategeezezza nti ebyafaayo byonna ebikwata ku bukulembeze bwa Benedict XVI nga paapa owe 265, byakubiddwa mu kyapa, ekigenda okussibwa mu ssanduuko mwagenda okuziikibwa.
Paapa Benedict XVI yawummula mu 2013, Paapa Francis nalondebwa, nga kino kyali kyasemba okubaawo mu mwaka gwa 1415, gye myaka 600 egyali giyiseewo paapa Girigooli naye bweyasalawo okuwummula.
Paapa Francis I eyadda mu bigere bya Benedict XVI,yebazizza Katonda eyakkiriza okuwaayo Paapa Benedict XVI eri klezia.
“We feel in our hearts so much gratitude. Gratitude to God for having given him to the Church and to the world. gratitude to him.” Paapa Francis
Paapa Benedict ku myaka 78 mu 2005 lweyalondebwa olukiiko lwa bakaliddinaali munsi yonna, n’afuuka paapa owa 265.
Paapa Benedict ng’amannya ge amazaale ye Joseph Ratzinger, oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa paapa yalonda erinnya erya Benedict XVI.
Paapa Benedict XVI yazaalibwa mu 1927, naafa nga 31 December,2022 ku myaka 95 egy’obukulu.#