Abatuuze bokukyalo Nabusugwe mu Gombolola ye Goma mu district ye Mukono baguddemu enkyukwe, omwana owekyaka 3 agudde mu kinnya kya kazambi (septic tank) nafiiramu.
Omwana Stuart Katumba abadde agenze ne maamawe okwoleza abazimbi engoye afuuneyo kukasente.
Maama abaleseewo ne mugandawe asooke abafunire eky’okulya agenze okudda ng’omwana we agudde mu kinnya
Akulira okunoonyereza kw’obuzzi bw’emisango ku police ye Seeta Joseph Okello agambye nti ekinnya kibadde tekyabikkibwako kintu kyonna, ekiviiriddeko omwana okugwayo,wabula bakyaliko byebakyanoonyereza.
Bisakiddwa: Majorine Kiita Mpanga