Police mu bitundu bye Mbarara etandise okunoonyereza ekyatunudde omusirikale w’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya SFC okukuba omwagalwa we amasasi agamutiddewo, ate naye neyeggya mu bulamu bw’ensi eno.
Ekikangabwa kino kibadde mu kabuga ye Rugaga mu district ye Kiruhura.
Private Dickens Nuwamanya ow’emyaka 27 ava mu kabinja ka ba Commando ba SFC e Ruhegyere yeyakubye omwagalwa we amasasi Patience Kamarembo.
Kigambibwa nti Private Dickens Nuwamanya yakubye omwagalwa we amasasi asatu mu kifuba agamutiddewo, oluvanyuma naye neyetunuzzaamu omuddumu gw’emmundu neyetta.
Samson Kasasira omwogezi wa police mu bendobendo lya Rwizi eritwala Kiruhura ategezezza nti batandise okunoonyereza ku ttemu lino.