Munnamawulire wa Cbs ku mukutu gwa Cbs Emmanduso 89.2, Kiyengo David, awangudde engule ey’omusasi w’amawulire asinze mu Uganda okukola amawulire agakwata ku byobulimi.
Empaka zino eza Uganda National Journalists Awards 2023 zaaategekeddwa aba Africa Center for Media Exellence (ACME).
Engule zino ziwereddwa bannamawulire abakoze ebyenjawulo mu mwaka 2023, era David Kiyengo, okutuuka ku buwanguzi amezze Charles Etukuri, owa New Vision ne Joshua Kato naye owa New Vision.
David Kiyengo era awangudde engule eya munnamawulire akutte ekyokubiri mu kuwandiika amawulire agakwata ku butonde bwensi, nga ku mutendera guno Ronald Musoke yajiwangudde nadirirwa Kiyengo David ne Raziah Athman owa New Vision.
Bannamawulire abalala abawereddwa engule kuliko Culton Scovia Nakamya owa BBS Tv, ngono aweereddwa engule eya Munnamawulire asinze okuwandiika ku by’obuwangwa.
Abalala Johnson Joesse Muto owa Radio Rupiny yawangudde abawandiika amwulire agakwata kubantu baabulijjo, Elvis Kintu Basudde ne Henry Ssekanjako aba New Vision, bebawangudde bannamawulire beebyobulamu abasinze, ssonga Silas Javier Omagor owa New Vision yasinze mu kuwandiika amawulire g’abantu abawa endowooza zabwe ku bintu eby’enjawulo.
Benson Oluka eyakulembeddemu akakiiko akaasunsudde bannamawulire bano, agambye nti bannamawulire bangi mu Uganda bakola amawulire nga tewali makubo gakubasiima, kyokka naasaba ababakozesa okwongera okubakwasizaako okufulumya amawulire ag’omutindo.
Omubaka w’omukago gwa Bulaaya mu Uganda, Jan Sadek, nga yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno oguyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala, agambye nti bannamawulire ssinga bawebwa eddembe lyabwe basobola okutumbula obuyiiya nokulondoola emirimu gye ggwanga,naasaba government eyongere obwetengereze mu kuwa bannamawulire eddembe lyabwe.
Suzan Nsibirwa ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kya ACME agambye nti empaka zino zitegekebwa okuzaamu amaanyi bannamawulire abaliko obuyiya bwebakoze naddala okutulugunyizibwa kwebayisibwamu mu mwaka omulamba.
Bisakiddwa: Ddungu Davis