Omwoleso gwa CBS Pewosa Nsiindikanjake ogw’obulimi n’obulunzi gutandise ku kitebe ky’essaza e Masaka, ng’essira liteekeddwa kukuddamu okukubiriza abalimi okulima ensuku n’okuzirabirira obulungi saako n’ebirime ebirala
Guno gwe mwoleso ogw’omulundi ogwa 2 nga gutegekebwa mu kitundu ekyo, ng’ogwasooka mu 2022 gwali gwesigamye ku kirime kya mmwaanyi.
Omumyuka wa Pokino Kato Abdallah agambye nti okuva edda n’edda nga Buddu emanyiddwa mu kulima ensuku, wabula abantu babadde bazisuuliridde era nga bangi babadde batunuulidde kyakulinda kugula matooke agava mu bitundu bye Ankole.
Omwoleso guno gugenda kumala wiiki namba nga giyinda, omuli okufunira abantu endu z’ebitooke ez’omutindo, emisomo egikwata ku nnima y’ebitooke ey’omulembe, endabirira yaago, saako ebirime ebirala.
Enteekateeka eno egendereddwamu okulwanyisa enjala n’okufuula obulimi n’obulunzi omulimu oguvaamu ensimbi ezegasa.
Okuyingira mu mwoleso abato basasula shs 5000 ate abakulu 10,000/=.#
Bisakiddwa: Ssendegeya Muhammad