Okwongera omutindo mu bikolebwa,okukolera awafunda,obwegassi,enkozesa ya sente,okuyigira ku balala n’okufuna obutale,bye bimu ku bisinze okusikiriza abantu abangi abeyiye mu mwoleso gwa CBS PEWOSA.
Omwoleso guno gubadde mu Lubiri e Mengo, abantu gyebalambudde n’okukuguka mu bintu ebyenjawulo omuli Obulimi,obulunzi,okutandikawo business entonotono ng’otandika n’ebitono ebikwetoolodde.
Bwabadde alambula omwoleso gwa CBS PEWOSA minister avunanyizibwa ku Bulambuzi embiri ,obuwangwa ne Nnono Owek David Kyewalabye Male atenderezza enteekateeka ennungi eyakoleddwa mu mwoleso gwa CBS PEWOSA.
Agambye emyoleso nga gino jongera okuzibula abantu amaaso,nga bayigira ku bantu abalala byebakola.
Omwogezi w’ekibiina ky’abasuubuzi mu ggwanga ekya KACITA Issa Ssekitto yoomu ku bantu abalambudde omwoleso,n’atendereza omutindo ogwongedde okwolesebwa ku by’amaguzi ebikolebwa bannauganda.
Ssekitto agambye nti ekisigalidde bebakulembeze okuyambako bannauganda okufunira ebyamaguzi byabwe akatale,neyebaza cbs olw’omwoleso guno oguwadde abantu bangi emikisa okubaako kyebekolera.
Agambye nti abantu basaanye okukimanya nti emyoleso gubeera kutegeeza balala ebintu byebakola bimanyibwe, okufuna ettutumu, okumanya abantu abalala abakola ebintu ebifaanagana n’okwebuuza ku balala engeri gyebakolamu ebyabwe n’entambuza za business.
Ssenkulu wa CBS Radio Omukungu Micheal Kawooya Mwebe ategezeza nti nga Radio ya Ssaabasajja CBS yakwongera okukola ebintu ebyenjawulo ebikulakulanya abantu, era nasaba abantu ba Kabaka okwongera okunyweza enkola ey’obwegassi.
Agambye nti okukolera awamu kati gwemulamwa cbs pewosa gweriko,ng’abantu bakola n’okulima ebintu mu bungi, nga singa babeera bafunye akatale nga basobola okukayimirizaawo.
Abantu boolesezza ebintu ebyenjawulo omuli abalimi ba muwogo ow’embala,emmwanyi,ebitooke,ebibala n’ebirala.
Mubaddemu abalunzi b’ente,embuzi,obumyu obuzungu n’obuganda, enkoko enganda n’enzungu,embizzi, ebyenyanja n’ebirala.
Mubaddemu ab’obukolero obutono abakola ebizigo,abatunda engoye,abakola ssabbuuni,abaweesi,abakola ebijimusa okuva mu kasasiro,okukola omubisi n’omwenge ekika kya Wine okuva mu bibala n’ebirala bingi.
Omwoleso gubaddemu abantu abakulu n’abaana abato, n’ebisanyusa bingi.
Omukungu Sawulo Katumba ayakuliddemu enteekateeka yokutegeka omwoleso ategezazza nti omwoleso gw’omwaka ogujja gwakutandika nga 06 April, 2023.