Omwoleso gwa bannamakolero ogwo mulundi 29 gutandise nomulange eri bannamakolero okwongera okutumbula omutindo mu byamaguzi byebakola ,nga bakozesa Ttekinologiya ow’omulembe n’obuyiiya .
Omwoleso guno gutegekebwa ekibiina ekigatta bannamakolero mu ggwanga ekya Uganda Manufactures Associations, guyindiira mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.
Omwoleso guno gwakumala wiiki namba gukomekkerezebwa 10 October,2023.
Omwogezi wa UMA Tumusime Lydia agamba nti ku mulundi guno essira balitadde ku makolero okuwa banna Uganda emirimu n’okugatta omutindo ku bintu byebakola omuli ebyobulimi,ebyobulunzi n’ebirala .#