Abaddu ba Allah abayisiramu munsi yonna bakutandika okusiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan ku lunaku lwa Thursday nga 23 march.
Abaddu ba Allah bagenda kusiiba wakati wénnaku 29 oba 30 nga bagenderera okujjuza empagi eyókuna ku mpagi 5 okuzimbiddwa eddiini eno.
Akulira Sharia ku kasozi Kibuli, Dr Hafiizi Walusimbiokutukuza nniya zabwe, era n’asaba Ummah mu mwezi ogwa Ramadhan okukola emirimu egyo egitukuza ekisiibo kyabwe, nókukozesa omukisa guno okwenenya ewa Allah.
Okusiiba omwezi gwa Ramadhan kukakata ku basiraamu bonna, wabula abasiramu abalina obuzibu nga abalwadde, abakyala abali munsonga n’embeera endala tebakirizibwa.
Omwezi ogwa Ramadhan gwe mwezi ogusinga okuba ogwénkizo mu myezi gyonna egyóbusiramu, abasiramu mwebatekeddwa okweyisiza obulungi, okwegayirira katonda okusonyiyibwa, okusiibulula abatalina némirimu emirala.
Omusiramu atekeddwa okuleeta nniya yókusiiba omwezi guno, era abasiibi bazukuka mu kiro okulya ddaaku wakati wéssaawa 9 ne 11 nga obudde bukya, wadde nga sikyabuwaze, kyokka akikoze afuna empeera.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe