Kikakasiddwa nti abaddu ba Allah abayisiramu bagenda kusaala Idd El Fitr olunaku olw’enkya ku lw’okutaano, oluvanyuma lw’omwezi oguggalawo ekisiibo okulabika olwaleero.
Kino kitegeeza nti abayisiramu basiibye ennaku 29 nga bajjuza empagi ey’okuna ku mpagi 5 okuzimbiddwa eddiini eno.
Okusaala okukulu wano mu Uganda kugenda kubeera ku muzikiti e Kibuli ne Kampala Mukadde.
Dr Hafiizi Walusimbi akulira Sharia ku muzikiti e Kibuli, akubirizza abasiramu okukeera mu mizikiti gyabwe okusaala Iddi El Fitil era n’okweteekateeka okusasula zakatul fitr.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe