Abatuuze ku kyalo Kasiiso ekisangibwa mu gomboloLa ye Butuntumula mu district ye Luweero baguddemu ekikangabwa omwana wa mutuuze munnabwe abadde azanyisa ekibiriiti mu buliri afiiridde mu muliro ogukutte emifaliso enju n’ebengeya.
Omugenzi ye Kiggundu Abdul ow’emyaka 5 nga mutabani wa Mukiibi Ali ne Babirye Grace, abadde mu muyizi ku Kasiiso Infant Nursery School mu Baby class.
Bino byonna bigenze okubaawo nga Maama w’omwana ono ne jjajja we bagenze kuziika ku muliraano, abatuuze amawulire gyegabasanze nebadduka kiwalazima bataase, ebyembi basanze omwana yasirisse dda.
Police ezze neggyayo omulambo negutwala ku ddwaliro ekkulu e Luweero okwongera okwekebejjebwa.