Bya Kirabira Fred
Emiranga n’okwaziirana bisaanikidde ekyalo Mangala mu gombolola ye Bukamba mu district ye Kaliro, omwana omulenzi abojjeddwa omusota naafa.
Omwana Baliddawa Fred wa myaka 15, abadde ne banne abalala babiri, nga nyabwe Namukose Fiina abadde abatumye bavube bafuneyo enva zekyemisana.
Kigambibwa nti Balidawa yakutte mu ttosi okukwata ensonzi, wabula bwanyuluddeyo kyakutte agenze okulaba nga musota.
Agutadde neguddayo mu mazzi naye nga gubadde gumaze okumubojja ku mukono.
Banne bayise taata waabwe Wansajja Peter nebamutegeeza ku kibaddewo, naye naakola entegeka eyamangu okumuddusa mu ddwaliro, naye babadde bakamutusaayo nakutuka.
Ssentebe we kyalo kino Kimaalyo Aggrey alabudde abazadde obutamala gakkiriza baana kutambula buli gyebasanze, naddala mu biseera bino eby’oluwummula ate nga n’omusana mingi.