Abazadde b’abayizi abaafiira mu kabenje akaagwa ku ssomero lya Kasaka Secondary school mu town council ye Kanoni mu district ye Gomba banyiivu, ku ngeri kooti gyeekuttemu ensonga z’omusango gwebawaaba nga baagala okuliyirirwa olwokufiirwa abaana baabwe.
Guweze omwaka mulamba okuva mu March wa 2023, Loole ekika kya Sino truck lweyawaba neyingirira ebizimbe by’essomero eryo, okukakkana ng’esse abayizi bessomero eryo 4 gattako okulumya abalala wamu n’okumenyaamenya ebizimbe by’essomero eryo.
Okuva olwo, abazadde nga beegattidde wamu n’essomero baggula omusango ku bannyini Loole wamu ne dereeva eyali agivuga, wabula bagamba nti omusango tegutambula gwekulula bwekuluzi nti nga buli kiseera ba namateeka babawawaabirwa nasaba kooti omusango egwongereyo mu maaso nga bekwaasa obusongasonga.
Mu kusaba okwokujjukira emyoyo gy’abayizi abaafiira mu kabenje ako okubadde ku ssomero eryo erya Kasaka SS Kanoni Gomba, abazadde beekokkodde ebibuuzo ebibabuuzibwa mu kooti nga bibaggya ku mulamwa, omuli eky’okuba nga balina ebifaananyi by’emirambo gy’abayizi abo n’ebirala.
Provost wa lutikko ye Kasaka Gomba mubulabirizi bwa Central Buganda Rev Canon Male Wilberforce nga yeyakulembeddemu okusaba, agambye nti akasoobo akateekeddwawo kooti tekalaga bwenkanya era nategeeza nti ensonga zonna bazikwaasizza Katonda.
Akulira eby’ensomesa y’abayizi ku ssomero lya Kasaka SS Gomba nga ye Mutanyi Bonnyfance n’amyuuka omukulu w’essomero eryo Cephas Katumba bagambye nti embeera yakabenje akaagwa kussomero lyabwe yaleetawo okutya nensisi mu bayizi okumala ekiseera kinene.
Agambye nti buli lwebabadde bawulira ekintu ekikuba nga bonna bagugumuka nti naye Kati emitima gitandise okudda munteeko, kyokka nebasaba buli gwekikwaatako abayambe bafune obwenkanya era baliyirirwe.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick