Abayizi ku ssomero lya Wampewo Ntake Senior Secondary School Gayaza Kasangati mu district ye Wakiso baguddemu ekyekango muyizi munnabwe bwasangiddwa ng’afiiridde okumpi n’essomero.
Nantongo Hawa myaka 19 egyobukulu yasangiddwa ng’alengejjera ku muti oguliraanye essomero.
Kigambibwa nti Nantongo Hawa abadde n’obutakwatagana ne maama we ku masomo gabadde ayagala okusoma mu S.5, wabula nga nnyina yagamugaana.
Omwana abadde ayagala kukola ssomo lya MEG omuli okubala ,ebyenfuna ne Geography sso nga maama we ayagala akole essomo lya BCM Biology ,Chemistry n’okubala omwana kyeyagaana.
Okunoonyereza okwakakolebwa police kulaze nti omukumi w’essomero eryo agibulidde nti yasembye okulaba Nantongo Hawa ng’afuluma gate y’essomero, wabula amawulire gazeemu okufuna nga gamutegeeza nti omwana asangiddwa okumpi n’essomero ng’afudde.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire asinzidde mu lukungaana lwa banamawulire ku Kitebe Kya police e Naguru nasabye abazadde obutakaka baana bintu byebatagala, wabula bongere kubalungamya kwebyo bebabeera basazeewo.
Police ekyanoonyereza okukakasa oba ng’omwana yetuze, oba nga basse mutte nebawanika omulambo ku muti, okubuzaabuza obujulizi.#