Bya Davis Ddungu
Omuwabuzi wa president ku nsonga za Kampala, munna NRM omuyimba Catherine Kasaasira, yeweze okutwala police mu mbuga z’amateeka olw’okulemesa ekivvulu kyeyategese ku bijaguzo bya paasika.
Kusasira yabadde ategese ekivvulu ku Farm Park e Kanaaba ku Easter monday,kyokka zaabadde ziwera saawa ssatu n’enkitundu ezekiro ekibinja kyabasirikale, abamutegezezza nti bavudde ku police ye Kibuye, nebamutegeeza nti ekivvulu kyeyategese tekyabadde mu mateeka.
Kusasira nga gyebuvuddeko president Museveni yamulonda okuba omuwabuziwe ku nsonga za Kampala, era abadde alabibwako ng’agaba ssente ezivudde ew’omukulembeze w’eggwanga eri abavubuka okwekulakulanya, agamba nti kawukuumi ajudde mu police yakuno, yaviiriddeko okuvumaganya government gyaweererezaamu.
Yerayiridde nti tagenda kusirika busirisi era wakutuuka eri bonna abakwatibwako.
Kusaasira annyonyodde nti ebyetaagisa byonna yabadde abisasudde era ng’alina n’obuwandiike okuva ku kitebe kya police e Nagguru.
Agamba nti abasirikale okuva e Kibuye bwebamusabye ssente nagaana okuzibawa, nti kwekukyankalanya ekitundu.
Alumirizza abasirikale ba police okumutiisatiisa wamu n’abadigize okubakuba amasasi, nga babalaalika nti singa tebava mu kifo wabadde wategekeddwa ekivvulu.
Kusasira omunyivu ategezezza Cbs nti police ya Uganda erina okusasulira ebintu byonna ebyayonoonese, neebyabbiddwa mu kifo awabadde wategekeddwa ekivvulu kino.
Agambye nti kimwewunyisa omuntu ku ali ku ddaala lye ery’omuwabuzi wa president okutulugunyizibwa mu mbeera eno, ssonga nebisanyizo yabadde abirina.
Wabula amyuka ayogerera police mu Kampala n’emiriraano, Luke Owesigire, agamba nti Catherine Kusaasira teyagoberedde mateeka.