Ekitongole ekivunanyizibwa ku mbuuka z’ennyonyi mu ggwanga ki Uganda Civil Aviation Authority kifulumizza alipoota ku muwendo gw’abantu abaafuluma n’abaayingira eggwanga mu mwezi gwa April 2024 okuyita ku Kisaawe ky’ennyonyi e Ntebbe.
Abantu emitwalo 82,247 bebaayingira eggwanga, ate abaalifuluma nga bayita ku kisaawe e Ntebbe baali 82,458.
Omwogezi wa Uganda Civil Aviation Authority Vianny Lugya agambye nti abantu 5,313 bebakozeseza ekisaawe kino buli lunaku.
Vianny ategezeza nti ate emigugu egyaleetebwa mu nnyonyi okuyingira eggwanga gyali 1,768
Asabye abakozesa ekisaawe kye Entebbe okwongera okugoberera amateeka agafuga ekisaawe.#