Olukiiko oluteesiteesi olw’emikolo gy’abajulizi e Namugongo lutegezezza nti kikyali kizibu okuteebereza omuwendo gw’abalamazi bomwaka guno, nga basuubira nti gwandiba omunene okusinga gwebaasooka okubalirira.
Mu kusooka baali bateebereza abalamazi okubeera obukadde bubiri,wabula basuubira omuwendo okusingirawo ddala,olw’abalamazi abaatuuse edda n’abakyali mu makubo okuba abangi.
Mu lukiiko lw’abamawulire olutudde ku kitebe ky’abakatuliki e Nsambya, Bishop Robert K Muhiirwa akuliddemu enteekateeka zonna agambye nti beetegese bulungi mu nsonga ezisinga obungi omuli ez’okutendereza, ez’ebyobulamu n’ebyokwerinda.
Bishop Muhiirwa agambye nti ebisigalidde by’abalamazi kinnomu,okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, buli kimu okutambula obulungi.
Abalamazi era balabuddwa obutamala gasaasaanya buveera buli webasanze, era nebalagibwa okubwewalira ddala bwekiba kisobose, mu kawefube w’okukuuma obutonde bwensi.
Olukiiko oluteesiteesi lutegezezza nti mu kiseera kino bakyetaaga obuyambi bw’ensimbi.
Ensimbi zino ziweerezebwa ku account ya Centenary bank 3203286953, eri mu mannya ga Fortportal diocese 2022 Uganda martyrs celebrations.
Oba Airtel money 0753-503354 oba Mobilemoney 0771-963204 mu mannya ga Roberk K Muhiirwa.
Essaza lye Fortportal lyeriteeseteese emikolo gy’okujjukira abajulizi omwaka guno 2022.
Ekibinja ky’abalamazi ekiva e Fortportal kituuse e Nswanjere Junior Seminary mu district ye Mpigi era webawummulidde.
Basuubirwa okutuuka e Namugongo olunaku lw’enkya nga 31 may,2022.