Abaana abakonziba beyongedde mu kitundu kye Karamoja, olw’endya embi wadde ng’amata gyegali mu bungi.
Ekitundu kye Karamoja kimanyiddwa mu kulunda ente kyoka amata agava mu nte zino, abazadde naddala abakyala bagatunda okusobola okulabirira abaami babwe nebaleka abaana nga tebalina kyakulya.
Abaana ebitundu 18.8% bebasobola okulya emmere ebamala okuzimba emibiri gyabwe, abasigadde tebafuna byamulya bimala ekibaviiriddeko okukonziba, so nga nabamu abazadde babwe babawa mwenge basobole okufuna otulo.
Okusinziira ku akulira okulakulanya abantu mu kitundu kye Karamoja Maggie Loreni, abazadde mu kitundu kye Karamoja tebamanyi mugaso gwa nyama n’amata mu kuyambako okukuza obulungi abaana, era nga nebyendya y’abaana tebabifaako.
Akulira eddwaliro lya Moroto Regional Refferal Hospital Dr. Pande Stephen agambye nti ekitundu kye Karamoja kikyalina okusomoozebwa kwe ndwadde eziva ku buligo, olw’abantu okusaasaanya obubi.
Agambye nti abantu ebitundu 52% bebeyambira buli webasanze.
Akulira UNICEF mu kitundu kye Karamoja Kwagala Rebecca ekya baana okukonziba akitadde ku buwangwa bwa ba Karamoja obutakubiriza basajja kukola, buli kimu nebakirekera abakyala.
Mu mbeera eno, abakyala olw’okwagala okukolerera abaami babwe, nga babafunira eby’okukya ebirungi n’okubafunira omwenge, kibaviirako okulagajjalira abaana n’obutabawa mmere emala era esaanidde eri emibiri gyabwe.
Bisakiddwa: Kato Denis